March 8th 2012
The Editor
Bukedde Newspaper
Kampala
OBUSILAAMU BWALEETA BUSUUTI N’EKANZU EBYA BUGANDA
Abasilaamu bonna mu Uganda babade mu kujaguza okukulu enyo nga bakuza emyaka 170 kasookede Ediini y’Obusilaamu etuuka mu Buganda mu mwaka gwa 1842 n’oluvanyuma n’esasaana mu Uganda yona n’okutuuka mu nsi endala eziriranye Uganda.
Ediini y’Obusilamu yaleetebwa Abawarabu abasuubuzi abaava e Zanzibar (mu biseera eby’edda eyayitibwanga UNGUJA) ate abalala baava mu nsi eyitibwa Muscat and Oman mu Middle East.
Ekitebe kyaabwe kyali ku kyaalo Lunguja. Ekigambo ekyo kyaava mu kigambo UNGUJA. Abaganda bakikyuusa ne bakiyita Lunguja era Kabaka Kalema eyayingira Obusiilamu awo e Lunguja weyabeeranga.
Omukolo ogw’okukuza emyaka 170 Obusiilamu gye bumaze mu Uganda gwali ku Hotel Africana wano mu Kampala ku Lwokutaano nga March 2, 2012 era gwali mukulu nyo era gwaliko abakulembeze bangi era waaliwo okusaala mu Mizikiti emikulu e Kibuli ne Kampala Mukade.
Ediini y’Obusilaamu yemu ku Diini enkulu wano mu Buganda era ye yasooka. Obusilamu bwatuuka wano ku mulembe gwa Sekabaka Mutesa I mu mwaka 1842 era nebusimba amakanda.
Amadiini amalala gajja mu Buganda Sekabaka Mutesa I bwe yayita Abaminsani okuva e Bungereza bajje basomese abantu be, mu 1875 olwo Abangereza Abaporotesitanti aba Church Missionary Society (CMS) ne batuuka wano mu 1877 era Kabaka naabawa Namirembe. Bateekawo Ekanisa eyayitibwanga Native Anglican Church (NAC) eyabunyisa Enjiri no kuzimba amasomero n’amalwaliro wona mu Uganda.
Abo badirirwa Abakatoliki Abafaransa aba White Fathers, abatuuka wano mu 1879 era Kabaka naabawa Rubaga.
Abakatoliki Abangereza aba Mill Hill Fathers, baatuka wano mu 1895. Bano bajja oluvanyuma lwa Sekabaka Mwanga eyali asikidde Mutesa I okukitwala nti e Bungereza teyali Bakatoliki.
Aba White Fathers e Rubaga kino bwebakitegeera ne baweereza mangu obubaka e London ne bayita Abakatoliki Abangereza bajje mangu mu Buganda, Kabaka alyoke akakase nti n’eBungereza Ediini Enkatoliki gyeeri. Abakatoliki aba Mill Hill Fathers batuuka wano mu 1895 era Kabaka naabawa Nsambya.
Abakatoliki baatandika okubunyisa Enjiri mu Buganda n’okuzimba amasomero n’amalwaliro era basooka kuzimba Namilyango College mu 1902.
Ediini zonsantule zikoze kinene nyo okukulaakulanya Buganda ne Uganda yona n’okugunjula abantu.
Ekintu ekikulu enyo enyo, Abasilaamu kyebaakola wano mu Buganda kwe kuleeta BUSUUTI ne KANZU Kabaka wa Buganda by’ayambala. Abawarabu Abasilaamu bebaleeta ekyambalo kya BUSUUTI ne KANZU ku mulembe gwa Sekabaka Mutesa I okuva e Zanzibar ne Muscat Oman era Mutesa I byamusanyusa nyo.
Ekyambalo kino Bakabaka ababeeranga e Zanzibar kye baayambala nga era ne mu Saudi Arabia kye bambala. Kya kitiibwa nyo era Abaganda mukiraba Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II bw’akyambala ngalabise mu Lukiiko lwa Buganda.
Ekyambalo kya BUSUUTI ne KANZU, Abaami n’Abakungu ba Kabaka kyebambala, okuviira ddala ku Katikiro n’okutuuka ku b’Amagombolola, ku mikolo emikulu egya Buganda era kati kyaabuna wona mu Uganda nga kyambalibwa Bakabaka n’Abaami ab’ebitundu ebirala.
Abasilaamu bwe baaleta ekyambalo kino ekya BUSUUTI ne KANZU yaako, ffe Abaganda twakigandawaza bulungi ne tusaako AMAFUMU N’ENGABO okulaga eky’okulwanyisa kya Buganda kye twakozesa okugigaziya n’okugikuuma, era twasaako n’Empologoma, kuba Kabaka tumuyita Mpologoma.
Ekanzu nayo twagigandawaza ne tugisaako omuleera okwetoloola obulago n’okukka wansi wano mu maaso. Busuuti ya Kabaka ye yoka eriko Amafumu n’Engabo n’Empologoma. Abazungu baaleeta kooti n’empale
Abasilaamu era baleetera Kabaka wa Buganda Namulondo eyali enungi enyo ey’omulembe era yabeeranga mu Lubiri e Mengo naye amagye g’Obote gaagikuba nga May 24 1966. Abazungu bo baaleeta kooti n’empale era kati ebyambalibwa mu Uganda yona.
Obusilaamu kati bulina ebitebe ebikulu bibiri mu Uganda. Kibuli (nga kyekyasooka) ne Kampala Mukade (UMSC) awali Omuzikiti omulungi enyo era ogusinga wano mu Africa, ogwazimbibwa eyali mukwano gw’Africa, omugenzi Muamar Gadaffi eyali Omukulembeze wa Libya.
Abasilaamu bakoze kinene okukulaakulanya Uganda mu bintu ebitali bimu. Omuganda eyatandika ekibiina ky’obufuzi Uganda National Congress mu 1952 ekyalwanirira okwefuga kwa Uganda, yali Musilaamu omugenzi Abubakar Kakyama Mayanja ow’eNgogwe mu Kyaggwe. Okwo gatako omulangira omugenzi Badru Kakunguru eyali Jjaja w’Obusilaamu mu Uganda eyakola enyo okukulakulanya Buganda n’okumalawo efugabi Obote lye yali aleese mu Uganda.
Abasilaamu bazimbye amasomero amakulu, nga Kibuli Secondary School, Nabisunsa Girls High School, Kawempe Moslem Secondary School, n’amalala mangi nyo.
Abasilaamu bazimbye zi Yunivasite kati ssatu; Islamic University in Uganda e Mbale, Kampala University e Gaba, ne Kampala International University. Nsaba Abasilaamu balowooze ku ky’okukyuusa erinya lya University eri e Mbale eyitibwe UGANDA MOSLEM UNIVERSITY, kubanga ly’erinya erisinga obulungi.
Abasilaamu baazimba edwaliro eddene ku Muzikiti e Kibuli. Abasilaamu baaleeta emere ey’omuceere, sumbusa, ne chapatti wano mu Uganda.
Abasilaamu bebanyweeza n’okuzimba obusuubuzi (trade) mu Uganda.
General Idi Amin, omusilaamu, bwe yali President wa Uganda yazza eby’enfuna (economy) n’obusubuzi (trade) mu mikono gy’Abadugavu era kati Abadugavu ab’amawanga gona mu Uganda bagagawadde lwa Amini kyeyakola.
Idi Amin yateekawo Uganda Airlines mu 1977, yazimba Earth Satellite (ekyuuma ekigata Uganda ku nsi yona) e Mpooma, Mukono District. Yazimba Uganda Conference Centre ne Nile Hotel kati eyitibwa Serena era nga ebyo yabikolera mu myeezi mwenda mu 1975 nga Olukiiko lwa Organization of African Unity lujja wano. Yamaliriza Uganda House, yagaziya Entebbe Airport, era nagulira Uganda ekizimbe mu New York. Waliwo n’Enkambi z’amagye (army barracks) zeyazimba mu bifo ebitali bimu era yakola ne bilara bingi okukulakulanya Uganda.
Abasilaamu baaleta Ekitabo Ekitukuvu, KORANI, Obusilaamu kwe buyimiridde era kwebunywerede, era kati waliwo enkolagana enungi n’Amadiini amalala mu kibiina ekigagata ekiyitibwa Uganda Joint Religious Council. Obusilaamu bugende mu maaso.
SIGNED:
KAVUMA-KAGGWA
OMUTAKA WE KYAGGWE
MUKONO DISTRICT
TEL: 0772 584 423
Like this:
Like Loading...